Genesis 46:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli n'agenda n'ebibye byonna. Bwe yatuuka e Beeriseba, n'aweereza Katonda wa kitaawe Yizaake ebitambiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Isirayiri n’addira byonna bye yalina, n’atandika olugendo; bwe yatuuka e Beriseba n’awaayo ssaddaaka eri Katonda wa kitaawe Isaaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Isiraeri n'atwala byonna bye yalina n'agenda e Beeruseba, n'awaayo ssaddaaka eri Katonda wa kitaawe Isaaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yisirayeli n'atwala byonna bye yalina, n'agenda e Beruseba, n'awaayo ekitambiro eri Katonda wa kitaawe Yisaaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isiraeri n'atambula ng'atwala byonna bye yalina, n'ajja e Beeruseba, n'awaayo saddaaka eri Katonda wa kitaawe Isaaka.