Genesis 46:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Yuda: Eri, Onani, Sela, Perezi ne Zeraki. Eri ne Onani baali baafa dda mu Kanaani. Batabani ba Perezi be ba Kezuroni ne Kamuli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aba Yuda: Eri, ne Onani, ne Seera, ne Pereezi ne Zeera; naye bo Eri ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani. Batabani ba Pereezi baali: Kezulooni ne Kamuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yuda ne batabani be: Eri, Onani, Seera, Pereezi, ne Zeera; naye Eri ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani. Ne batabani ba Pereezi baali Kezulooni ne Kamuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yuda ne batabani be: Eri ne Onani, ne Seera ne Pereezi ne Zeera. Naye Eri ne Onani bafiira mu nsi ya Kanaani. Batabani ba Pereezi baali Hezurooni ne Hamuli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batabani ba Yuda; Eri, ne Onani, ne Seera, ne Pereezi, ne Zeera: naye Eri ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani. Ne batabani ba Pereezi baali Kezulooni ne Kamuli.