Genesis 46:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo be batabani ne bazzukulu ba Leya be yazaalira mu Paddani-Aramu, awamu ne Dina muwala we. Bonna awamu ezzadde lye baali abantu asatu mu basatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo be batabani ba Leeya be yazaalira Yakobo nga bali mu Padanalaamu, omuwala ye yali Dina. Abaana bonna aboobulenzi n’aboobuwala baali amakumi asatu mu basatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo be batabani ba Leeya, be yazaalira Yakobo mu Padanalaamu, wamu ne muwala we Dina; abaana be bonna abasajja n'abakazi baali abantu asatu mu basatu (33).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo be batabani ba Leeya, be yazaalira Yakobo mu Paddanaraamu. Waaliwo ne muwala we Dina. Ezzadde lyonna erya Yakobo eryasibuka mu Leeya, baali abantu amakumi asatu mu basatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo be batabani ba Leeya, be yazaalira Yakobo mu Padanalaamu, awamu n'omuwala we Dina: abaana be bonna abasajja n'abakazi baali obulamu asatu mu busatu.