Genesis 46:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo be batabani ne bazzukulu ba Zilupa Labani gwe yawa Leya muwala we, Zilupa be yazaalira Yakobo; bonna awamu baali kkumi na mukaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano be batabani ba Zirupa, Labbaani gwe yawa Leeya muwala we, be yazaalira Yakobo; abantu kkumi na mukaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo ekkumi n'omukaaga (16), lye zzadde lya Yakobo eryasibuka mu Zirupa, omuzaana Labbani gwe yawa Leeya muwala we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo ekkumi n'omukaaga, lye zzadde lya Yakobo eryasibuka mu Zilupa, omuzaana Labani gwe yawa Leeya muwala we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo be batabani ba Zirupa, Labbaani gwe yawa Leeya omwana we, era abo be yazaalira Yakobo, bwe bulamu ekkumi n'omukaaga.