Genesis 46:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'ayogera ne Yisirayeli mu kulabikirwa kw'ekiro, n'amuyita nti: “Yakobo, Yakobo.” N'amwanukula nti: “Nzuuno.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’ayogera ne Isirayiri mu kwolesebwa ekiro, n’amuyita nti, “Yakobo, Yakobo?” N’amuddamu nti, “Nze nzuuno.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'ayogera ne Isiraeri mu kwolesebwa okw'ekiro, n'amugamba nti, “Yakobo, Yakobo.” N'addamu nti, “Nze nzuuno.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'ayogera ne Yisirayeli, ng'amulabikidde ekiro, n'amuyita nti: “Yakobo, Yakobo!” Ye n'addamu nti: “Nzuuno!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'ayogera ne Isiraeri mu kwolesebwa okw'ekiro, nti Yakobo, Yakobo. N'ayogera nti Nze nzuuno.