Genesis 46:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Misiri Yozefu yazaalirwayo abaana ab'obulenzi, Asenati muwala wa Potifera kabona w'e Oni be yamuzaalira, be ba Manasse ne Efurayimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aba Yusufu ng’ali e Misiri baali Manase ne Efulayimu, Asenaasi muwala wa Potiferi kabona wa Oni be yamuzaalira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu nsi y'e Misiri, Asenansi, muwala wa Potifari, kabona w'e Oni yazaalira Yusufu abaana ab'obulenzi babiri: Manase ne Efulayimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu Misiri, Asenati, muwala wa Potifera kabona w'e Oni, yazaalira Yosefu abaana ab'obulenzi babiri: Manasse ne Efurayimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Yusufu n'azaalirwa mu nsi y'e Misiri Manase ne Efulayimu, Asenaasi omwana wa Potiferi kabona ow'e Oni be yamuzaalira.