Genesis 46:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo be batabani ne bazzukulu ba Rakeli be yazaalira Yakobo. Bonna wamu baali kkumi na bana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu abasibuka mu Laakeeri mukazi wa Yakobo baali kkumi na bana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo ekkumi (10) n'abaana be batabani ba Laakeeri, be yazaalira Yakobo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo ekkumi n'abana lye zadde lya Yakobo eryasibuka mu Raakeeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo be batabani ba Laakeeri, abaazaalirwa Yakobo: obulamu bwonna bwali kkumi na buna.