Genesis 46:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo be batabani ba Biluwa, Labani gwe yawa Rakeli muwala we, Biluwa be yazaalira Yakobo; bonna awamu abaana musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano be baava mu Biira mukazi wa Yakobo, Labbaani gwe yawa Laakeeri muwala we; bonna be bantu musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo omusanvu (7) lye zzadde lya Yakobo eryasibuka mu Bira, omuzaana Labbaani gwe yawa Laakeeri muwala we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo omusanvu lye zadde lya Yakobo eryasibuka mu Biliha, omuzaana Labani gwe yawa Raakeeli muwala we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo be batabani ba Bira, Labbaani gwe yawa Laakeeri omwana we, era abo be yazaalira Yakobo: obulamu bwonna bwali musanvu.