Genesis 46:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna abaagenda ne Yakobo mu Misiri, b'azaala kennyini, nga totaddeeko baka batabani be, baali nkaaga mu mukaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bonna aba Yakobo abajja mu Misiri, ab’enda ye nga totaddeeko baka baana be, baali abantu nkaaga mu mukaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ezzadde lya Yakobo lyonna eryagenda mu Misiri, lyali abantu nkaaga mu mukaaga (66), nga tobaliddeemu baka batabani be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ezzadde lya Yakobo lyonna eryagenda mu Misiri, lyali abantu nkaaga mu mukaaga, nga tobaliddeemu baka batabani be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obulamu bwonna obwayingira mu Misiri awamu ne Yakobo, obwava mu ntumbwe ze, obutassaako bakazi b'abaana ba Yakobo, obulamu bwonna bwali nkaaga mu mukaaga;