Genesis 46:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Yozefu, abaamuzaalirwa mu nsi y'e Misiri, baali babiri. Awo bonna awamu n'ennyumba ya Yakobo abaagenda mu Misiri baali nsanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani ba Yusufu abaamuzaalirwa ng’ali mu Misiri baali babiri. Abantu bonna ab’ennyumba ya Yakobo abajja e Misiri baali nsanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani ba Yusufu, abaamuzaalirwa mu Misiri, baali babiri. Abantu bonna ab'omu nnyumba ya Yakobo abaagenda mu Misiri baali nsanvu (70).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani ba Yosefu abaamuzaalirwa mu Misiri, baali babiri. Abantu bonna ab'omu nnyumba ya Yakobo abaagenda mu Misiri, baali nsanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne batabani ba Yusufu, abaamuzaalirwa mu Misiri, baali bulamu bubiri: obulamu bwonna obw'ennyumba ya Yakobo, obwayingira mu Misiri, bwali nsanvu.