Genesis 46:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu n'ategeka ekigaali kye, n'agenda okusisinkana kitaawe Yisirayeli mu Goseni. Bwe yamweraga, n'amuwambaatira, n'akaaba okumala akaseera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yusufu n’ateekateeka eggaali lye n’agenda okusisinkana Isirayiri kitaawe e Goseni, n’amweraga, n’amugwa mu kifuba n’akaabira mu kifuba kye okumala akabanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'ateekateeka eggaali lye, n'ayambuka okusisinkana Isiraeri kitaawe, mu Goseni; n'amweyanjulira, n'amugwa mu kifuba, n'akaaba amaziga okumala ekiseera kinene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'ateekateeka eggaali ye, n'agenda e Goseni okusisinkana Yisirayeli kitaawe. Bwe baasisinkana, Yosefu n'agwa kitaawe mu kifuba, n'akaaba amaziga okumala ekiseera kiwanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'ateekateeka eggaali lye, n'ayambuka okusisinkana Isiraeri kitaawe, mu Goseni; ne yeeraga gy'ali, n'amugwa mu bulago, n'akaaba amaziga mu bulago bwe ekiseera ekinene.