Genesis 46:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli n'agamba Yozefu nti: “Kati ne bwe nfa, kasita nkulabyeko nti okyali mulamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Kale kaakano ka nfe, kubanga ndabye amaaso go ne ntegeera nti okyali mulamu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isiraeri n'agamba Yusufu nti, “Kaakano naafa bulungi kubanga nkulabyeko ne mmanya ng'okyali mulamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisirayeli n'agamba Yosefu nti: “Ne bwe nfa kaakano, kasita nkulabyeko ne mmanya ng'okyali mulamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isiraeri n’agamba Yusufu nti Kaakano ka nfe, kubanga ndabye amaaso go, ng'okyali mulamu.