Genesis 46:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu n'agamba baganda be n'ennyumba yonna eya kitaawe nti: “Nzija kugenda, mbuulire Faraawo, nzija kumugamba nti: ‘Baganda bange n'ennyumba ya kitange, abaali mu nsi y'e Kanaani, bantuuseeko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yusufu n’agamba baganda be n’ab’ennyumba ya kitaawe nti, “Nzija kugenda eri Falaawo mugambe nti, ‘Baganda bange n’ennyumba ya kitange abaali mu nsi ya Kanani bazze gye ndi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'agamba baganda be n'ennyumba ya kitaawe nti, “Ka ŋŋende mbuulire Falaawo nti, ‘Baganda bange n'ennyumba ya kitange abaali mu nsi y'e Kanani, batuuse ewange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'agamba baganda be n'ab'omu nnyumba ya kitaawe nti: “Ka ŋŋende ntegeeze kabaka nti baganda bange n'ab'omu nnyumba ya kitange, abaali mu nsi ya Kanaani, bazze gye ndi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'agamba baganda be n'ennyumba ya kitaawe nti N'ayambuka ne mbuulira Falaawo ne mmugamba nti Baganda bange n'ennyumba ya kitange, abaali mu nsi Kanani, bazze ewange: