Genesis 46:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bantu balunzi ba ndiga, anti bakuumi ba magana; endiga, ente n'ebyabwe byonna babireese.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka balunzi; balunda ente era baleese amagana gaabwe n’ebisibo byabwe ne byonna bye balina.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Basajja basumba era abalunzi b'ebisolo; baleese endiga, ente, n'ebintu byabwe byonna.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kumutegeeza nti muli basumba, era abalunzi b'ebisolo, era nti muleese endiga zammwe n'embuzi n'ente zammwe, n'ebyammwe byonna bye mulina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era abasajja be basumba, kubanga baalundanga nte; era baleese endiga zaabwe n'ente zaabwe ne byonna bye balina.