Genesis 46:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwanukula nti: ‘Abaweereza bo okuva obuto bwaffe n'okutuusa kati, okufaanana nga bajjajjaffe, tuli balunzi.’ Ebyo bye munaayogera, musobole okusenga mu nsi y'e Goseni, kubanga Abamisiri b'enyinyala buli mulunzi wa ndiga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mumuddemu nti, ‘Abaweereza bo kasookedde tuzaalibwa tuli balunzi, ffe ne bajjajjaffe.’ Mulyoke mubeere mu nsi ya Goseni, kubanga abalunzi baamuzizo eri Abamisiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mumuddangamu nti, ‘Ffe abaddu bo tuli balunzi okuva mu buto n'okutuusa kaakati, era ne bajjajjaffe bwe baali;’ mulyoke mutuule mu nsi ey'e Goseni; kubanga kya muzizo Abamisiri okubeera awamu n'abasumba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaamuddamu nti: ‘Ffe abaweereza bo, tubadde basumba okuva mu buto bwaffe n'okutuusa kati, nga ne bajjajjaffe bwe baali,’ mulyoke mubeere mu kitundu ky'e Goseni, kubanga Abamisiri baziza okubeera n'abasumba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwogeranga nti Abaddu bo baalundanga nte okuva mu buto bwaffe okutuusa leero, ffe era ne bajjajja baffe: mulyoke mutuule mu nsi y'e Goseni: kubanga buli musumba kya muzizo eri Abamisiri.