Genesis 46:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kuserengeta naawe e Misiri, era nkukakasa nti ndikuggyayo ne nkukomyawo, ne Yozefu yennyini y'alikuzza ebikowe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nzija kuserengeta naawe e Misiri, era ndi kuggyayo; era olifiira mu mikono gya Yusufu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndigenda naawe e Misiri, era sirirema kukuggyamu nate; era bw'olifa, Yusufu alikuziika.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kuserengeta wamu naawe mu Misiri, era ndikomyawo bazzukulu bo mu nsi eno. Era bw'olifa, Yosefu aliba waali, era alikuziika.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ndiserengeta naawe mu Misiri; era sirirema kukuggyamu nate: era Yusufu aliteeka engalo ze ku maaso go.