Genesis 46:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo n'ava e Beeriseba, batabani be ne bamutwala n'abaana n'abakazi baabwe mu bigaali Faraawo bye yali aweerezza okutwala kitaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yakobo n’ava e Beriseba, batabani be ne bamutwalira wamu n’abaana baabwe abato, ne bakazi baabwe ne babassa mu magaali Falaawo ge yaweereza okumutwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'asituka, n'ava e Beeruseba; batabani be ne bamuteeka ye, n'abaana baabwe ne bakazi baabwe, mu magaali kabaka w'e Misiri ge yaweereza okumutwaliramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'asitula n'ava mu Beruseba, batabani be ne bamuteeka ye n'abaana baabwe ne bakazi baabwe, mu magaali, kabaka w'e Misiri ge yaweereza okumutwaliramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'agolokoka n'ava mu Beeruseba: abaana ba Isiraerii ne basitulira Yakobo kitaabwe, n'abaana baabwe abato n'abakazi baabwe, mu magaali Falaawo ge yaweereza okumusitula.