Genesis 46:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne batwala amagana gaabwe n'obugagga bwabwe bwonna bwe baali bafunidde mu nsi Kanaani, ne bajja mu Misiri; Yakobo n'ezzadde lye lyonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ne batwala ebisibo n’ebintu byabwe bye baafunira mu nsi ya Kanani ne batuuka e Misiri, Yakobo wamu n’ezzadde lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne batwala ensolo zaabwe n'ebintu byabwe bye baafuna mu nsi ya Kanani, ne bagenda mu Misiri. Yakobo n'agenda n'ezzadde lye lyonna,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne batwala ensolo zaabwe, n'ebintu byabwe bye baafunira mu nsi ya Kanaani, ne bagenda mu Misiri. Yakobo n'agenda wamu n'ezadde lye lyonna,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batwala ensolo zaabwe n'ebintu byabwe bye baafuna mu nsi ya Kanani, ne bajja mu Misiri, Yakobo n'ezzadde lye lyonna awamu naye: