Genesis 47:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu n'agenda n'abuulira Faraawo nti: “Kitange, baganda bange, endiga zaabwe n'ente zaabwe, nga bali n'eby'obugagga bwabwe bwonna, bavuddeyo mu nsi y'e Kanaani, kati bali mu Goseni.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yusufu n’agenda eri Falaawo n’amugamba nti, “Kitange ne baganda bange n’amagana gaabwe n’ebisibo byabwe ne byonna bye balina bazze nga bava mu Kanani; kaakano bali Goseni.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'alyoka ayingira n'agamba Falaawo nti, “Kitange ne baganda bange, endiga zaabwe, n'ente zaabwe ne byonna bye balina, batuuse nga bava mu nsi ya Kanani, era kati bali Goseni.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yosefu n'alonda bataano ku baganda be, n'agenda nabo eri kabaka, n'amugamba nti: “Kitange ne baganda bange batuuse, nga bavudde mu nsi ya Kanaani. Bazze n'endiga zaabwe n'ente zaabwe, ne byonna bye balina, era kaakano bali mu kitundu ky'e Goseni.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'alyoka ayingira n'abuulira Falaawo n'ayogera nti Kitange ne baganda bange, endiga zaabwe, n'ente zaabwe ne byonna bye balina, batuuse bavudde mu nsi ya Kanani; era, laba, bali mu nsi y'e Goseni.