Genesis 47:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu n'awa kitaawe ne baganda be obutaka mu Misiri mu kitundu ky'ensi ekisingira ddala obulungi, mu kitundu ky'e Raamesesi nga Faraawo bwe yali alagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yusufu n’asenza kitaawe ne baganda be e Misiri, n’abawa ekitundu ekyali kisinga obulungi eky’e Goseni, mu Disitulikiti ey’e Lamusesi nga Falaawo bwe yalagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'asenza kitaawe ne baganda be, n'abawa obutaka mu nsi ye Misiri, awasinga obulungi, e Lameseesi, nga Falaawo bwe yalagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yosefu n'asenza kitaawe ne baganda be, n'abawa ettaka mu nsi y'e Misiri, awasinga obulungi mu kitundu ky'e Rameseesi, nga kabaka bwe yalagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'atuuza kitaawe ne baganda be, n'abawa obutaka mu nsi y'e Misiri, awasinga obulungi mu nsi, mu nsi ya Lamesesi, nga Falaawo bwe yalagira.