Genesis 47:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nsi yonna emmere n'eggwaamu kubanga enjala yali eyinze nnyo; ensi ya Misiri ne Kanaani ne ziyenjebuka enjala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo emmere n’eggwa mu kitundu ekyo kyonna kubanga enjala yayitirira obungi, ne kireetera ensi y’e Misiri ne Kanani okukosebwa ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enjala n'eba nnyingi nnyo mu nsi ye Misiri ne mu nsi ya Kanani, abantu n'okuzirika ne bazirika olw'enjala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne wataba mmere mu nsi yonna, kubanga enjala yali nnyingi nnyo, abantu b'omu Misiri n'ab'omu Kanaani ne bakenena olw'enjala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne wataba mmere mu nsi yonna: kubanga enjala yali nnyingi nnyo, ensi y'e Misiri n'ensi ya Kanani n'okuzirika ne zizirika olw'enjala.