Genesis 47:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu ssente zonna mu Misiri ne mu Kanaani n'azibakuŋŋaanyangako ng'abaguza eŋŋano, n'azitwala mu ggwanika lya Faraawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yusufu n’akuŋŋaanya ensimbi zonna ezaali mu Misiri ne mu Kanani ng’abaguza emmere; n’azireeta mu lubiri lwa Falaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'aguza eŋŋaano abantu bonna ab'omu nsi y'e Misiri ne mu nsi ya Kanani, n'akuŋŋaanya effeeza nnyingi, n'agiteeka mu ggwanika lya Falaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'akuŋŋaanya ensimbi zonna, ezaali mu nsi y'e Misiri, ne mu nsi ya Kanaani, ng'aguza abantu eŋŋaano, Yosefu n'azireeta mu ggwanika lya kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'akuŋŋaaaya effeeza yonna eyalabikira mu nsi y'e Misiri ne mu nsi ya Kanani, ng'abaguza eŋŋaano: Yusufu n'aleeta effeeza mu nnyumba ya Falaawo.