Genesis 47:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu mu Misiri ne mu Kanaani ssente bwe zabaggwaako, Abamisiri bonna ne bajjanga eri Yozefu, ne bagamba nti: “Tuwe emmere. Lwaki tufa ng'olaba? Ssente zonna zituweddeko.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ensimbi bwe zaggwa ku bantu b’e Misiri ne Kanani ne bajja eri Yusufu ne bamugamba nti, “Tuwe emmere. Ensimbi zituweddeko. Lwaki tufa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Effeeza yonna bwe yaggwaawo mu nsi y'e Misiri ne ya Kanani, Abamisiri bonna ne bagenda eri Yusufu, ne bamugamba nti, “Tuwe emmere tuleme kufa kubanga ffeeza etuweddeko.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensimbi zonna bwe zaggwaayo mu nsi y'e Misiri, ne mu nsi ya Kanaani, Abamisiri bonna ne bajja eri Yosefu, ne bagamba nti: “Tuwe emmere. Totuleka kufa ng'olaba. Ensimbi zituweddeko.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Effeeza yonna bwe yaggwa mu nsi y'e Misiri ne mu nsi ya Kanani, Abamisiri bonna ne bajjira Yusufu ne boogera nti Tuwe emmere: kubanga kyetunaava tufiira mu maaso go kiki? kubanga effeeza etubuze.