Genesis 47:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogwaddirira ne bajja gy'ali, ne bamugamba nti: “Tetuyinza kukikisa mukama waffe nti ssente zaffe zaatuggwaako, n'amagana gali mu buyinza bwa mukama waffe. Tewali kisigalidde, mukama waffe, wabula emibiri gyaffe n'ettaka lyaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwaka ogwo bwe gwaggwaako, ne bajja eri Yusufu mu mwaka ogwaddirira ne bamugamba nti, “Tetuukukise mukama waffe, ensimbi zituweddeko n’ensolo zaffe zifuuse zizo tewali kye tusigazza, wabula emibiri gyaffe gino n’ebyalo byaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwaka ogwaddirira, ne bajja nate eri Yusufu ne bamugamba nti, “Tetujja kukukisa mukama waffe, effeeza yaffe yonna yaggwaawo, n'ebisibo byaffe byonna biweddewo, tewali kye tusigazza, okuggyako ffe ffennyini n'ettaka lyaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwaka ogwo bwe gwaggwaako, ne bajja gy'ali mu mwaka ogwaddirira, ne bamugamba nti: “Tetujja kukukisa, ssebo: ensimbi zaffe zonna zaatuggwaako, n'amagana g'ensolo zaffe twagakuwa dda. Tetukyalina kirala kya kukuwa, ssebo, okuggyako okukwewa ffe ffennyini n'ebibanja byaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwaka ogwo bwe gwaggwaako, ne bamujjira mu mwaka ogw'okubiri, ne bamugamba nti Tetuukise mukama wange ng'effeeza yaffe yonna yaggwaawo; n'ebisibo by'ensolo bya mukama wange: tewali ekisigaddewo mu maaso ga mukama wange, wabula emibiri gyaffe n'ebyalo byaffe: