Genesis 47:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu baganda be n'alondamu bataano, n'abanjula ewa Faraawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yalondako bataano ku baganda be, n’agenda nabo ewa Falaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'alonda ku baganda be abasajja bataano, n'abaleetera eri Falaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ayanjula baganda be eri kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alonda ku baganda be abasajja bataano, n'abaleetera Falaawo.