Genesis 47:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu bw'atyo ettaka lyonna mu Misiri n'aligulira Faraawo, buli omu ng'atunda ennimiro ye olw'enjala eyali ebakanyiridde. Ettaka ne lifuuka lya Faraawo
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Yusufu n’agulira Falaawo ensi yonna ey’e Misiri. Abamisiri kinoomu, bonna ne batunda ebyalo byabwe kubanga enjala yali mpitirivu, ensi yonna n’efuuka ya Falaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yusufu n'agulira Falaawo ensi yonna ey'e Misiri; kubanga Abamisiri baatunda buli muntu ettaka lye, olw'enjala okuyitirira; ensi yonna n'efuuka ya Falaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yosefu n'agulira kabaka ensi yonna ey'e Misiri. Buli Mumisiri n'atunda ekibanja kye, kubanga enjala yabayitirirako obungi. Ettaka lyonna ne liba lya kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yusufu n'agulira Falaawo ensi yonna ey'e Misiri; kubanga Abamisiri baatunda buli muntu ennimiro ye, kubanga enjala yabayingirira: ensi n'efuuka ya Falaawo.