Genesis 47:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abantu be bonna n'abafuula baddu be, okuva ku nsonda emu eya Misiri okutuuka ku ndala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo n’abantu baamu okuva ku njuyi zonna ne bafuuka baddu ba Falaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'asengula abantu, n'abassa mu bibuga, n'abafuula abaddu, okuva ku nsalo ya Misiri emu, okutuuka ku ndala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu abantu n'abafuula baddu okuva ku nsalo ya Misiri emu, okutuuka ku ndala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abantu n’abajjulula n'abassa mu bibuga okuva ku nsalo y'e Misiri weekoma okutuusa ku nkomerero yaayo endala.