Genesis 47:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lyo ettaka lya bakabona teyaligula, kubanga bo baalinanga omugabo okuva ewa Faraawo, nga balina emmere emala ey'omugabo Faraawo gye yabawanga, bwe batyo bo nga tebalina kutunda ttaka lyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitundu kya bakabona kye kyokka ky’ataagula, kubanga bo baasasulwanga Falaawo. Kye yabasasulanga kwe beeguliranga ebyokulya; bo kyebaava batatunda ttaka lyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ettaka lya bakabona lyokka ly'ataagula kubanga bakabona baali balina omugabo gwabwe gwe baaweebwanga Falaawo, ne balyanga ku mugabo gwabwe Falaawo gwe yabawanga; kye baava balema okutunda ettaka lyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ettaka lya bakabona lyokka ly'ataagula, kubanga bakabona baalina omugabo ogwabwe, kabaka gwe yabawanga ogwabayimirizangawo, kyebaava batatunda ttaka lyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi ya bakabona yokka gy’ataagula: kubanga bakabona baali balina omugabo gwabwe gwe baaweebwanga Falaawo, ne balyanga omugabo gwabwe Falaawo gwe yabawanga; kyebaava balema okutunda ensi yaabwe.