Genesis 47:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu n'agamba abantu nti: “Nga bwe mulaba, mmaze okubagula n'ettaka lyammwe, muli ba Faraawo, kati ensigo ziizo mugende musige mu nnimiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yusufu n’agamba abantu nti, “Mulabe, olwa leero mbaguze mmwe n’ebyalo byammwe; mbagulidde Falaawo. Kale kaakano ensigo zino zammwe munaazisiga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'agamba abantu nti, “Ngulidde Falaawo ettaka lyammwe, nammwe ne mbaguliramu. Kale ensigo ziizo, ze munaasiga mu nnimiro zammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'agamba abantu nti: “Ngulidde kabaka ettaka lyammwe, nammwe ne mbaguliramu. Kale ensigo ziizo, ze munaasiga mu nnimiro zammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'alyoka agamba abantu nti Laba, ngulidde leero Falaawo mmwe n'ensi yammwe: laba, ensigo zammwe ziizino, munaasiga ensi.