Genesis 47:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye okukungula bwe kunaggwa, Faraawo munaamuwako kyakutaano; ebyokutaano ebina mubisigaze kwe munaggya ensigo n'emmere olw'amaka gammwe n'abaana bammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe mulikungula, muliwa Falaawo ekitundu kimu kyakutaano, ebitundu bina bya kutaano biriba byammwe, okuba ensigo mu nnimiro zammwe, n’emmere ku lwammwe n’ab’ennyumba zammwe n’abaana bammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe munaakungulanga, munaawanga Falaawo ekitundu ekyokutaano, n'ebitundu ebina bye binaabanga ebyammwe, eby'okusiga mu nnimiro n'okulya, mmwe n'ab'omu nnyumba zammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu makungula, munaawanga kabaka ekitundu kimu ekyokutaano. Ebitundu ebina ebisigaddewo, bye binaabanga ebyammwe eby'okusiga n'okulya, mmwe awamu n'ab'omu maka gammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olulituuka bwe munaakungulanga, munaawanga Falaawo ekitundu eky'okutaano, n'ebitundu ebina bye binaabanga ebyammwe, okuba eby'okusiga ennimiro n'okuba emmere yammwe era n'ab'omu nnyumba zammwe n'okuba emmere ey'abaana bammwe abato.