Genesis 47:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne baanukula nti: “Owonyezza obulamu bwaffe. Obanga nsanze ekisa mu maaso ga mukama wange, tujja kubanga baddu ba Faraawo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddamu nti, “Otuwonyezza okufa; mukama waffe bw’anaasiima tuliba baddu ba Falaawo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne boogera nti, “Otuwonyezza okufa; kati tuli baddu ba Falaawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagamba nti: “Otuwonyezza okufa! Era ssebo, bw'osiima, tunaaba baddu ba kabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne boogera nti Otuwonyezza mu kufa: tulabe ekisa mu maaso ga mukama wange, era tuliba baddu ba Falaawo.