Genesis 47:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu bw'atyo n'ateekawo etteeka, erikyaliwo n'okutuusa ku lunaku lwa leero, nti ekyokutaano eky'amakungula kiba kya Faraawo. Ettaka lyokka erya bakabona lye litaafuuka lya Faraawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yusufu n’ateeka etteeka erikwata ku ttaka mu nsi y’e Misiri; weeliri n’okutuusa kaakano, nti ekitundu kimu kyakutaano kiba musolo gwa Falaawo; ettaka ly’abakabona lyokka lye litaafuuka lya Falaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'ateeka etteeka eryo mu nsi y'e Misiri erikyaliwo ne leero; Falaawo okuweebwanga ekitundu ekyokutaano, naye ettaka lya bakabona lyokka lyeritaafuuka lya Falaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yosefu n'ateeka etteeka mu Misiri erikyaliwo ne leero, abantu okuwanga kabaka ekitundu ekimu ekyokutaano. Ettaka lya bakabona lyokka lye litaafuuka lya kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'ateeka etteeka eryo ery'ensi y'e Misiri ne leero, Falaawo okuweebwanga ekitundu eky'okutaano; naye ensi ya bakabona yokka ye etaafuuka ya Falaawo.