Genesis 47:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo n'amala mu nsi y'e Misiri emyaka kkumi na musanvu; emyaka gyonna egy'obulamu bwe gyali kikumi mu ana mu musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakobo n’amala mu Misiri emyaka kkumi na musanvu. Bw’atyo Yakobo n’awangaala emyaka kikumi mu ana mu musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'amala emyaka kkumi na musanvu (17) ng'asenze mu nsi ey'e Misiri; emyaka gyonna Yakobo gye yawaangala gyali kikumi mu ana mu musanvu (147).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'amala emyaka kkumi na musanvu mu nsi y'e Misiri, bw'atyo n'aweza emyaka kikumi mu ana mu musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'amala emyaka kkumi na musanvu mu nsi y'e Misiri: bwe zityo ennaku za Yakobo, emyaka egy'obulamu bwe, zaali myaka kikumi mu ana mu musanvu.