Genesis 47:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku ez'okufa kwa Yisirayeli bwe zasembera, n'atumya mutabani we Yozefu, n'amugamba nti: “Obanga nsanze ekisa mu maaso go, teeka omukono gwo wansi w'ekisambi kyange onsuubize nti olindaga n'ekisa n'obwesige. Tonziikanga mu Misiri,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiseera eky’okufa kwa Isirayiri bwe kyali kisembedde, n’ayita mutabani we Yusufu n’amugamba nti, “Obanga nfunye ekisa mu maaso go teeka omukono gwo wansi w’ekisambi kyange, ondayirire ng’onompulira n’otonkuusakuusa: tonziikanga mu Misiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Isiraeri bwe yali ng'anaatera okufa n'ayita omwana we Yusufu, n'amugamba nti, “Nkwegayiridde kkiriza kaakano, oteeke ekibatu kyo wansi w'ekisambi kyange ondayirire nti tolinziika mu Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisirayeli bwe yali ng'anaatera okufa, n'ayita omwana we Yosefu, n'amugamba nti: “Kkiriza, nkwegayiridde, oteeke ekibatu kyo wansi w'ekisambi kyange, weeyame nti tolinziika mu Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebiro ne bitera okutuuka Isiraeri by'agenda okufiiramu: n'ayita omwana we Yusufu, n'amugamba nti Obanga kaakano ndabye ekisa mu maaso go, nkwegayiridde, teeka omukono gwo wansi w'ekisambi kyange, onkolere eby'ekisa n'eby'amazima; tonziikanga, nkwegayiridde, mu Misiri: