Genesis 47:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo n'abuuza baganda be nti: “Mukola mulimu ki?” Ne baanukula nti: “Abaweereza bo, ne kitaffe, tulunda ndiga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Falaawo n’ababuuza nti, “Omulimu gwammwe mulimu ki?” Ne bamuddamu nti, “Abaweereza bo tuli balunzi nga bajjajjaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo n'ababuuza nti, “Mukola mulimu ki?” Ne baddamu Falaawo nti, “Abaddu bo tuli basumba nga bajjajjaffe bwe baali.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'ababuuza nti: “Mukola mulimu ki?” Ne bamuddamu nti: “Ffe abaweereza bo, tuli basumba, nga ne bajjajja baffe bwe baali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo n'agamba baganda be nti Emirimu gyammwe ki? Ne bagamba Falaawo nti Abaddu bo basumba, ffe era ne bajjajja baffe.