Genesis 47:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula bwe ndituuka okugalamira ne bajjajjange, onzizangayo okuva mu Misiri n'onziika gye baaziikibwa.” Yozefu n'ayanukula nti: “Nzija kukola nga bw'oyogedde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
onteekanga wamu ne bajjajjange. Olintwala n’onziika ku butaka.” Yusufu n’amuddamu nti, “Ndikola nga bw’ogambye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe mba nga nfudde onzigyanga mu Misiri n'onziika ku butaka bwa bajjajjange.” Yusufu n'addamu nti, “Ndikola nga bw'oyogedde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye njagala nziikibwe awali bajjajjange, onzigye mu Misiri, onziike mu kifo mwe baaziikibwa.” Yosefu n'addamu nti: “Ndikola nga bw'osabye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye bwe ndyebakira awamu ne bajjajja bange, onsitule onziye mu Misiri, onziike mu kifo kyabwe eky'okuziikangamu. N'ayogera nti Ndikola nga bw'oyogedde.