Genesis 47:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne basaba Faraawo nti: “Tuzze twewogomeko wano kubanga olw'enjala eyinze mu Kanaani, tetukyalina we tulundira nsolo zaffe. Tusaba okkirize abaweereza bo tubeere mu nsi y'e Goseni.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tuzze muno kunoonyeza bisibo byaffe muddo, kubanga abaddu bo tuva mu njala mpitirivu eri mu Kanani; ne kaakano abaddu bo tukusaba tubeere e Goseni.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagamba Falaawo nti, “Tuzze okutuula mu nsi eno; kubanga enjala nnyingi mu nsi ya Kanani, so tewali muddo gwa kuliisa bisibo byaffe. Kale kaakano tukwegayiridde kiriza abaddu bo batuule e Goseni.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tuzze okubeera mu nsi eno, kubanga mu nsi ya Kanaani enjala nnyingi, tewali muddo gwa kuliisa magana gaffe. Kale nno kaakano, tukwegayiridde, tukkirize tubeere mu kitundu ky'e Goseni.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bagamba Falaawo nti Tuzze okutuula mu nsi; kubanga tewali muddo gwa bisibo bya baddu bo; kubanga enjala nnyingi mu nsi ya Kanani: kale nno kaakano, tukwegayiridde, abaddu bo batuule mu nsi y'e Goseni