Genesis 47:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bawe babeere mu nsi y'e Goseni. Mu bo bwe mubaamu abasajja abeesobola, bawe balabirire amagana gange.” Ensi y'e Misiri ekuli awo mu maaso: bawe, babeere mu kitundu ekisingira ddala obulungi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi y’e Misiri gw’ogirinako obuyinza, teeka kitaawo ne baganda bo awasinga obulungi; bateeke e Goseni. Era obanga omanyi asobola mu bo muwe akuume ente zange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ensi y'e Misiri eri mu maaso go; kale laba awasinga obulungi, e Goseni w'oba obatuuza; era oba omanyi ku bo ab'amagezi, bafuule abalunzi b'ente zange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ensi y'e Misiri eri awo. Bateeke awasinga obulungi, babeere mu kitundu eky'e Goseni. Era oba nga omanyi mu bo abasobola, bawe okulabirira amagana gange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ensi y'e Misiri eri mu maaso go; awasinga obulungi mu nsi tuuza awo kitaawo ne baganda bo; batuule mu nsi y'e Goseni: era oba nga omanyi ku bo ab'amagezi, kale bafuule abakulu b'ente zange.