Genesis 47:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo n'ayanukula Faraawo nti: “Emyaka gyange gibadde gya kubunga, kati giweze kikumi mu asatu; mitono naye nga gijjudde ebizibu, kyokka tegyenkana gya bajjajjange abansooka okubunga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakobo n’addamu nti, “Emyaka egy’olugendo lwange mu nsi giri kikumi mu amakumi asatu; emyaka gyange gibadde mitono era mizibu; siwangadde nga bajjajjange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'amuddamu nti, “Nnina emyaka kikumi mu asatu (130). Emyaka egyo gibadde mitono, era mibi, tegyenkana gya bajjajjange gye baawangaalanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'addamu nti: “Emyaka gye nnaakamala ku nsi, giri kikumi mu asatu. Emyaka egyo gibadde mizibu era mitono, tegyenkanye myaka gya bajjajjange emingi gye baamala ku nsi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'agamba Falaawo nti Ennaku ez'emyaka egy'okutambula kwange ziri myaka kikumi mu asatu: ennaku ez'emyaka egy'obulamu bwange ziri ntono era mbi, so teziwera nnaku za myaka gya bulamu bwa bajjajja bange mu nnaku ez'okutambula kwabwe.