Genesis 48:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebbanga nga liyiseewo, ne babuulira Yozefu nti: “Kitaawo mulwadde.” N'agenda ng'atutte ne batabani be ababiri Manasse ne Efurayimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma Yusufu n’ategeezebwa nti, “Laba, kitaawo mulwadde.” Bw’atyo n’atwala batabani be Manase ne Efulayimu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne bagamba Yusufu nti, “Kitaawo mulwadde,” n'atwala batabani be bombi, Manase ne Efulayimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, ne babuulira Yosefu nti: “Kitaawo mulwadde.” Yosefu n'agenda wamu ne batabani be bombi Manasse ne Efurayimu, okulaba Yakobo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne bagamba Yusufu nti Laba, kitaawo alwadde: n'atwala naye abaana be abasajja bombi, Manase ne Efulayimu.