Genesis 48:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaaso ga Yisirayeli gaali gatandise okuzitowa olw'obukadde, nga tasobola kulaba. Yozefu n'asembeza abaana gy'ali, n'abanywegera, n'abawambaatira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera kino amaaso ga Isirayiri gaali gayimbadde olw’obukadde, nga takyasobola kulaba. Awo Yusufu n’abamusembereza, Yakobo n’abagwa mu kifuba n’abanywegera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era amaaso ga Isiraeri gaali gayimbadde olw'obukadde, nga takyalaba bulungi. Yusufu n'abamusembereza; Isiraeri n'abawambaatira, n'abanywegera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaaso ga Yisirayeli gaali gazibye olw'obukadde, nga takyalaba bulungi. Yosefu n'abamusembereza. N'abawambaatira, n'abanywegera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era amaaso ga Isiraeri gaali gazibye olw'obukadde, n'okuyinza teyayinza kulaba. N'abamusembereza; n'abanywegera n'abawambaatira.