Genesis 48:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli n'agamba Yozefu nti: “Nali sirowooza nga ndiddayo ne nkulabako, naye Katonda anzikirizza n'okulaba ku zzadde lyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Saasuubira kulaba maaso go; era laba Katonda ansobozesezza okulaba n’abaana bo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isiraeri n'agamba Yusufu nti, “Nali sisuubira kuddayo kukulabako; naye kaakano Katonda andabisizza ne ku baana bo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisirayeli n'agamba Yosefu nti: “Nali sirowooza nga ndiddayo okukulabako. Naye kaakano Katonda anzikirizza okulaba ne ku baana bo!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isiraeri n'agamba Yusufu nti Nali sirowooza kulaba maaso go: era, laba, Katonda andabisizza n'ezzadde lyo.