Genesis 48:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu bombi ng'abakutte, n'ateeka Efurayimu ku gwa ddyo gwe, gwe gwa kkono ogwa kitaawe, Manasse n'amussa ku gwa kkono, gwe gwa ddyo ogwa kitaawe. Bombi n'abamusembereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yusufu n’abatwala bombi, Efulayimu ng’ali mu mukono gwe ogwa ddyo, okwolekera ogwa Isirayiri ogwa kkono, ne Manase ng’ali mu mukono gwe ogwa kkono okwolekera ogwa Isirayiri ogwa ddyo, n’abamusembereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'abakwata bombi, Efulayimu n'omukono gwe ogwa ddyo awali omukono ogwa kkono ogwa Isiraeri, ne Manase n'omukono gwe ogwa kkono awali omukono ogwa ddyo ogwa Isiraeri, n'abasembeza gy'ali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'abakwata bombi, Efurayimu mu mukono gwe ogwa ddyo, ku ludda olwa Yisirayeli olwa kkono, ne Manasse mu mukono gwe ogwa kkono, ku ludda lwa Yisirayeli olwa ddyo, n'abasembeza awali kitaawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'abakwata bombi, Efulayimu n'omukono gwe ogwa ddyo awali omukono ogwa kkono ogwa Isiareri, ne Manase n'omukono gwe ogwa kkono awali omukono ogwa ddyo ogwa Isiraeri, n'abasembeza gy'ali.