Genesis 48:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Yisirayeli emikono gye n'agiyisiŋŋanya; bwe yagolola ogwa ddyo, n'agussa ku mutwe gwa Efurayimu newandibadde nga ye muto ku muganda we, ate ogwa kkono n'agussa ku mutwe gwa Manasse sso nga ye muggulanda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isirayiri n’agolola omukono gwe ogwa ddyo n’aguteeka ku mutwe gwa Efulayimu eyali omuto, n’omukono gwe ogwa kkono n’aguteeka ku mutwe gwa Manase, n’ayisiŋŋanya emikono gye, kubanga Manase ye yasooka okuzaalibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Isiraeri n'agolola emikono gye n'agigombeza; ogwa ddyo n'agussa ku mutwe gwa Efulayimu omuto, ogwa kkono n'agussa ku mutwe gwa Manase omukulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Yisirayeli n'agolola emikono gye, n'agigombeza: ogwa ddyo n'agussa ku mutwe gwa Efurayimu asinga obuto, ogwa kkono n'agussa ku Manasse asinga obukulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isiraeri n'agolola omukono gwe ogwa ddyo, n'agussa ku mutwe gwa Efulayimu, ye muto, n'omukono gwe ogwa kkono ku mutwe gwa Manase, ng'atereeza emikono gye ng'amanyi; kubanga Manase ye yali omubereberye.