Genesis 48:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo n'awa Yozefu omukisa, n'agamba nti: “Katonda bajjajjange Yiburayimu ne Yizaake gwe baatambuliranga mu maaso ge, Katonda abadde omusumba wange obulamu bwange bwonna n'okutuusa ku lunaku lwa leero,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’awa Yusufu omukisa, n’agamba nti, “Katonda wa jjajjange Ibulayimu ne kitange Isaaka gwe baatambulira mu maaso ge, Katonda oyo ankulembedde obulamu bwange bwonna okutuusa leero,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'asabira Yusufu omukisa n'ayogera nti, “Katonda wa bajjajjange Ibulayimu ne Isaaka gwe baaweerezanga, Katonda andabiridde ennaku zange zonna okutuusa leero;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'asabira Yosefu omukisa, n'agamba nti: “Katonda, jjajjange Aburahamu ne kitange Yisaaka gwe baaweerezanga, Katonda eyandabiriranga okuva mu buto bwange okutuusa kaakano, awe abaana bano omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nasabira Yusufu omukisa n'ayogera nti Katonda wa bajjajja bange Ibulayimu ne Isaaka gwe baatambuliranga mu maaso ge, Katonda eyandiisanga ennaku zange zonna okutuusa leero,