Genesis 48:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika eyamponya obubenje bwonna, awe omukisa abaana bano. Erinnya lyange n'aga bajjajjange Yiburayimu ne Yizaake gabbulirwenga mu bo. Baale, babe bangi mu nsi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika oyo eyannunula okuva mu bizibu byonna, owe omukisa abalenzi bano. Erinnya lyange lyeyongerenga okutuumibwa mu bo era n’erya Ibulayimu n’erya Isaaka. Era bafuuke ekibiina ekinene mu maaso g’ensi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
malayika eyannunula mu bubi bwonna, awe abalenzi omukisa. Erinnya lyange, n'erya jjajjange Ibulayimu ne kitange Isaaka gatuumibwenga mu bo, era bafuuke ekibiina ekinene mu nsi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika eyannunula mu buli kabi konna, abawe omukisa. Erinnya lyange n'erya jjajjange Aburahamu, n'erya kitange Yisaaka, gatuumibwenga mu bo. Bazaale abaana bangi, bafune abazzukulu bangi nnyo ku nsi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
malayika eyannunula mu bubi bwonna, awe omukisa abalenzi; n'erinnya lyange lituumibwenga ku bo, n'erinnya lya bajjajja bange Ibulayimu ne Isaaka; era bafuuke ekibiina ekinene wakati mu nsi.