Genesis 48:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu bwe yalaba nga kitaawe ogwa ddyo agutadde ku mutwe gwa Efurayimu, ne kitamusanyusa. N'akwata omukono gwa kitaawe aguggye ku mutwe gwa Efurayimu agusse ku gwa Manasse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yusufu bwe yalaba nga kitaawe atadde omukono gwe ogwa ddyo ku Efulayimu n’atakyagala, n’akwata omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efulayimu aguzze ku mutwe gwa Manase.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu bwe yalaba nga kitaawe assizza omukono gwe ogwa ddyo ku mutwe gwa Efulayimu, n'anyiiga; n'asitula omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efulayimu okugussa ku mutwe gwa Manase.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu bwe yalaba nga kitaawe, atadde omukono gwe ogwa ddyo ku mutwe gwa Efurayimu, n'atasanyuka. N'akwata omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efurayimu, okugussa ku mutwe gwa Manasse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu bwe yalaba nga kitaawe assizza omukono gwe ogwa ddyo ku mutwe gwa Efulayimu, n'anyiiga: n'asitula omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efulayimu okugussa ku mutwe gwa Manase.