Genesis 48:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'agaana, n'agamba nti: “Mmanyi mwana wange, mmanyi. N'ono alivaamu eggwanga ly'abantu, era aliba mututumufu, naye muto we y'alitutumuka okumusinga, n'ezzadde lye lirivaamu ebbiina ly'amawanga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kitaawe n’agaana n’agamba nti, “Mmanyi, mwana wange, mmanyi nti alifuuka eggwanga era aliba mukulu; kyokka muto we aliba mukulu okumusinga era alivaamu amawanga mangi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kitaawe n'agaana n'ayogera nti, “Mmanyi, mwana wange, mmanyi; Manase alifuuka ggwanga, era aliba mukulu; naye muto we ye alimusinga obukulu, n'ezzadde lye lirivaamu amawanga amangi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka kitaawe n'agaana. N'agamba nti: “Mmanyi, mwana wange, mmanyi. Bazzukulu ba Manasse nabo balifuuka ggwanga, era baliba bakulu. Naye muto we ye alimusinga obukulu, era bazzukulu be balifuuka mawanga mangi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kitaawe n'agaana n'ayogera nti Mmanyi, mwana wange, mmanyi: era naye alifuuka ggwanga, era naye aliba mukulu: naye omwana waabo ye alimusinga obukulu, n'ezzadde lye liriba mawanga mangi.