Genesis 48:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bategeeza Yakobo nti: “Mutabani wo Yozefu wuuno azze gy'oli.” Yisirayeli ne yeekakaba, n'atuula ku kitanda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakobo n’ategeezebwa nti, “Mutabani wo azze okukulaba.” Awo Yakobo ne yeekakaba ku kitanda kye n’atuula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagamba Yakobo nti, “Omwana wo Yusufu azze okukulaba.” Isiraeri ne yeekakaabiriza, n'atuula ku kitanda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bategeeza Yakobo nti: “Omwana wo Yosefu azze okukulaba.” Yakobo ne yeekakaba, n'atuula ku kitanda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bagamba Yakobo nti Laba, omwana wo Yusufu ajja gy'oli: Isiraeri ne yeekakaabiriza, n'atuula ku kitanda.