Genesis 48:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abawa omukisa ku olwo ng'agamba nti: “Yisirayeli anaawanga omukisa nga yeeyamba erinnya lyo nti: ‘Katonda akufuule nga Efurayimu ne Manasse.’ ” Bw'atyo Efurayimu n'amukulembeza Manasse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’abasabira omukisa ku lunaku olwo ng’agamba nti, “Abaana ba Isirayiri basabiragane omukisa nga bagamba nti, ‘Katonda akuyise nga Efulayimu ne Manase.’ ” Bw’atyo n’ateeka Efulayimu mu maaso ga Manase.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abasabira omukisa ku lunaku olwo, ng'ayogera nti, “Mu Isiraeri bwe banaabanga basabira omuntu omukisa, banaakozesanga amannya gammwe, nga bagamba nti, ‘Katonda akufuule nga Efulayimu ne Manase.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abasabira omukisa ku lunaku olwo, ng'agamba nti: “Mu Yisirayeli bwe banaabanga basabira omuntu omukisa, banaakozesanga amannya gammwe, nga bagamba nti: ‘Katonda akufuule nga Efurayimu ne Manasse.’ ” Bw'atyo Efurayimu n'amukulembeza Manasse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abasabira omukisa ku lunaku olwo, ng'ayogera nti Mu ggwe Isiraeri anaasabanga omukisa, ng'ayogera nti Katonda akufuule nga Efulayimu ne Manase: Efulayimu n'amusoosa Manase.